Exodus 25:31
Ekikondo ky’Ettaala
31 a“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba.
Copyright information for
LugEEEE